Bya samuel ssebuliba .
Ekitebe ky’e gwanga lya America mu Uganda kiriko ekiwandiiko ky’ekifulumizza nga kiraga obutali bumativu kungeri banamawulire gyebayisidwamu mu Arua, nga kwogase n’okukwata ababaka nga eby’okutale abamu nebatuuka n’okufuna obuvune obwamaanyi.
Bano bagamba nti abantu bonna abaakwatiddwa bagwana okutwalibwa nga abantu, kale bakirizibwe okulaba ku b’enganda zaabwe ne banamateeka, era nga ssemateeka bwagamba.
Abalala aboogede ku mbeera eno bebakulu okuva ku kitebe ky’omugago gwamawanga ga bulaya mu Uganda.
Bano mukiwandiiko ky’ebasindise bagamba nti ebyaali mu Arua bikyabatisiza nabo, kubanga bino baali tebabisuubira mu Uganda eno etambulira ku democracy