Bya Sam Ssebuliba
Olwaleero Omubaka wa Kyadondo east mu palamenti Robert Kyagulanyi ayogeddeko eri banamawuliire mu kibuga Washington DC mwategerezza nga bweyatulugunyiziibwa abakuma ddembe bakuno bweyali akwatiidwa .
Wabula agambye alina essanyu lyansuso okuba nga alwanirira eddembe wamu nemirembe gyabanauganda wakti mukuwaayo obulamu bwe.
Ono asubiiza okutandiikira weyakooma bwanaba amalirizza okufuna obujanjabi.
Kati munamateeka wo’mubaka Robert Amsterdam agamba bakupererezza gavumenti ya America okukomya obuyambi bwewa ekitongole kye byokwerinda.
Kyagulanyi yakwatiibwa kulunaku olwakomekerezza okunonya akalulu komubaka wa Arua Municipality era avuannibwa emisago okuli okulya munsi yye olukwe wamu nokuba nekonbanne mukubab emotooak yomukulembezze amayinja.
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo yewunyiiza kumbeera yomubaka Robert Kyagulanyi okusoboola okuvaayo nayogerako eri banamawuliire nag yavakuno nga ataegezezza nga bweyali affa.