Omusajja ow’emyaka 22 aguddwaako emisango gy’okufuuka ekyetere era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.
Claude Bihoyiti kondakita wa Taxi ogumuvunaanibwa kufuka kumulyango gwa paaka enkadde
Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti City Hall Moses Nabende era emisango n’agyegaana
Oludda oluwaabi lugamba nti Bihoyiti yasangiddwa mu paaka enkadde ng’atiirisa mu kifo ky’olukale
Kkooti etegeezezza ng’okunonyereza ku musango guno bwekuwedde era nga gwakutandika okuwulirwa nga 31 omwezi guno