Skip to content Skip to footer

Omukazi afafaaganye ne ssedduvutto

Omukyala asanze omusajja nga yekakatiise ku kawala ke ak’emyaka ena atanziddwa emitwalo 30.

Agnes Nabirumbi agguddwaako misango gya kulumya Arnold Kakeeto gweyagwiridde n’akuba

Omukyala ono bw’abadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti city hall Moses Nabende era nga teyegaanye misango.

Nabirumbi asabye omulamuzi obutamukaliga nnyo kubanga bwabadde busungu oluvanyuma lw’okusanga omusajja ku muwala we kyokka omulamuzi n’amutegeeza nga bweyandibadde awaaba ku poliisi mu kifo ky’okutwalira amateeka mu ngalo.

Oludda oluwaabi lugamba nti omukyala ono omutuuze mu Kikaaya yalumizza Kakeeto.

Yye omusajja ono naye akyaali mu kkomera okutuuka nga 30 omwezi guno lw’annadda naye awerennembe n’emisango gy’okukabasanya ebbujje.

Leave a comment

0.0/5