Abayizi basatu beebawereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’omuliro okukwata essomero mu disitulikiti ye Masaka
Omuliro guno gukutte ssomero lya St. Kizito Luvule Senior Secondary e Bukakata mu disitulikiti ye Masaka negusanyaawo n’ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde
Omuliro guno gutandikidde mu kisulo ky’abayizi abawala era nga basatu mu kulwana nagwo balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro e Masaka.
Ebintu ebyonoonese mwemuli ebiwandiiko, emifaliso, engoye n’ebirala
Atwala essomero lino Leonard Kiyimba abayizi abalumiziddwa abamenye nga Monica Nambatya, Amina Nakyanzi ne Joanita Namumbejja nga bonna ba siniya yakuna.