Bya samuel Ssebuliba.
Police wano e Luwero eriko abaana 16 beenunudde okuva mu kanisa emu eyeeyita eya God’s Power Revival Church ku lusozo Sinalya wano Kalule-Bombo.
Police egamba nti omusajja Musinguzi Keefa, nga ono yeekazaako ekitiibwa eky’obusumba abadde yawamba abaana bano nga abakuumie mukifananyi ekyokubasomesa ediini.
Twogedeko n’akulira ekitongole ekikola ku by’abaana mu police Atuhaire Maureen naagamba nti baafunye okutemezebwako okuva mu batuuze nabo nebasitukiramu baagenze okutuukayo nga abaana bali eno batandise n’okukonziba
Mukaseera kano pastor ono akwatiddwa, ateredwako gwakukusa baana