Bya Ben Jumbe.
Omubaka wa parliament ow’esaza lye Aruu odonga Otoo aliko ebaluwa gy’awandiikidde amyuka speaker Jacob Oulanya nga amutegeeza nga bwatagenda kudda mu ntuula za parliament ono zakubiriza kubanga nebwamusaba okumulonda abeeko kyayogera yeefula atamulaba.
Ono mubbaluwa gyeyaandiise olunaku lw’eggulo, agamba nti kino yayongedde okukyetegereza olunaku lweggulo mukubaganya ebirowoozo ku Alipoota eyakoleddwa ku by’okutulugunya ababaka ba parliament, yakanze kusituka bamulonde nga speaker alondamu balala.
Kati ono agamba nti parliament agidukanya nga munabyabufuzi era nga amateeka agafuga entuula nenzirukanya ya parliament ye alinga atagaliiko akola byayagala.
Kati ono agamba nti wakugenda nga mu ntuula zino singa anakimanyangako nti speaker Kadaga yaagenda okukubiriza kubanga akooye okumala obudde nga awuliriza aba NRM boogera .