Bya samuel Ssebuliba.
Okunonyereza okwakolebwa aba Sauti za Wanaichi ku by’obulamu bya Uganda mu mwaka 2017 nadala kubutya , abantu bwebalaba eby’obulamu n’enkozesa y’amalwaliro ga government yalaga nga banna-uganda ebitundu 51% bwebaludde nga tebagenda mu malwaliro ga government okufuna obujanjabi.
Kubano abaagendayo ebitundu 30% bagamba nti baamala obudde buwanvu nga bali mu nyiriri balinda okubakolako,songa ebitundu 29% bagamba tebasangayo dagala.
Ebizibu ebirara byebagamba byebasangayo kuliko obutafibwako basawo nga bano bakola ebitundu 18%, ebitundu 16% bagaba nti baasanga abalwadde nga bebase kutta- kale nebatamwa embeera.
Twogedeko ne bannayuganda abenjawulo nebatubuulira kyebalowooza ku mpereza yamalwaliro ga gavumenti.
Wabula bwetwogedeko n’akola ku byamawulire mu ministry y’ebyobulamu Emma Ainebyona agambye nti ebirabikidde mu kunonyereza kuno , ne bannayuganda byebogera sibituufu, kubanga amalwaliro amatono agaliwo gajjudde.