Bya Ritah Kemigisa.
Ssabaminister we gwanga Dr Ruhakana Rugunda olunaku olwaleero agenda kwolekera ekitundu kye Acholi ne Madi, nga eno agenda kumalayo enaku biri nga amalawo enkayana ku taka lye Apaa.
Omwogezi wa office ya ssabaminister Julius Mucunguzi,atubuulide nti ekibinja ekigenda kuliko amyuka ssabaminister asooka Gen Moses Ali, ba minisita okuli akola ku by’etaka , ow’amazzi n’obutonde bwensi , government ez’ebitundu, ministry ekola ku nsonga z’omunda, abakola ku by’ebisolo eby’omunsiko n’abalala.
Kati bano bebagenda okutuuza abacholi nabaMadi , bakaanye kubwananyini bwetaka lino okuvudde enkayana
Kinajukirwa nti n’omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yaliko mu kitundu kino omwezi oguwedde kino era ku nsonga zezimu