Skip to content Skip to footer

Panadol w’abasajja bimutabukidde

panadol w'abasajja

Omuyimbi  Jemimah Kansiime eyakazibwaako  Panadol wa Basajja ebintu byongedde okumwononekera, oluvanyuma lw’omulamuzi okumuzzaayo ku alimanda e luzira

Kinajjukirwa nti Kansiime omwezi oguwedde yavunaanibwa n’omukwasi w’enyimba  Didi Mugisha eyatanzibwa emitwalo 20 nga kanaluzaala yava ku luyimba lweyatuuma Nkulinze , olugambibwa  okubaamu ebikolwa ebyekiseegu ebitagambika.

Ono olwaleero alemereddwa okuleeta abantu abamweyimirira ku musango gw’okwolesa obuseegu era omulamuzi Richard  Mafabi kwekusalawo okumuzza ku alimanda e Luzira .

Oludda oluwaabi lugamba nti Mugisha ne Kansiime baayolesa obugwenyufu n’obuseegu mu luyimba luno olwasasanyizibwa eri bannayuganda.

kakati ono waakuda mu kkooti nga 2 December.

Leave a comment

0.0/5