Skip to content Skip to footer

Ababaka ba Buganda bandibonerezebwa

BUganda caucus

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde ababaka okuva mu kabondo ka Buganda okunyonyola lwaaki babuuzeewo bonna mu lutuula lwa palamenti oba ssi kkyo bakubonerezebwa

Kiddiridde nampala w’abavuganya Cecilia Ogwal okwemulugunya ku kubula kw’ababaka bano

Ogwal agambye nti yawuliddeko nti ababaka bano abawerera ddala 99  bagenze wa Gen Salim Saleh e Kapeeka okulambula faamu ye ng’alumiriza nti omuwendo gw’ababaka bano munene kale nga ssinga baabadde bakutambula, banditegeezezzaako sipiika.

Sipiika Kadaga agambye nti teyategeezeddwaako ku nsonga eno era nga bano balina okunyonyola.

Kino kiwalirizza Kadaga okwongezaayo olutuula .

Tugezezzaako okufuna akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda Godfrey Kiwanda kyokka nga kawefube waffe agudde butaka

Leave a comment

0.0/5