Akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo nsalesale w’abantu okwekebera ku nkalala z’abalonzi ne nnaku 5 mu kulongoosa enkalala zino okugenda mu maaso.
Nsalesale w’okulongosa enkalala z’abalonzi abadde aggwanga olunaku lwenkya wabula nga kati kwakugenda mu maaso okutuusa nga 4 omwezi ogujja.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu ategezezza nga bwebakoze kino okuwa omukisa abo bonna abatanekebera ku nkalala zino okukikola baleme kusubwa kulonda.
Nga ayogerako nebanamawulire ,Kigundu ategezezza nti bakizudde nti ennaku eziyise abantu banji bajumbidde okwekebera ku nkalala kwekusalawo okubongerayo akadde.
Akakiiko k’ebyokulonda kaasazamu enkalala zonna ezakozesebwa mu kulonda kwa 2011 nga kati omuntu yenna okulonda alina okuddamu okwewandiisa.
Kiggundu agamba bannayuganda balina okukozesa akakisa k’olunaku lw’abakozi lwebatagenda kukola bewandiise.