Poliisi ekakkanya obujagalalo e Mubende eyitiddwa bukubirire okukkakanya abasubuuzi abakolera mu katale ka Simons Food Mart ababadde beekalakaasa .
Bano bawakanya abatwala eby’obulamu mu kibuga Mubende okuwamba obuyumba bwaabwe mwebakoleranga bagamba nti ekifo kikyafu era nga bakolerawo mu bumenyi bwamateeka
Kino kitanudde abasubuuzi nebalumba ekitebe kya tawuni kanso ye Mubende nga bakulembeddwaamu Simon Vvuubi nyini katale kano nga bagala babaddize obuyumba bwaabwe ekiwalirizza poliisi okubakubamu amasasi ne Tiyagaasi.
Mu ngeri yeemu twogeddeko n’abamu ku basuubuzi abagamba nti tebajja kukkiriza kusengulwa