Kkooti etaputa ssemateeka egobye omusuusbuzi omututumufu Drake Lubega mu paaka ya baasi eya Qualicel Bus Terminal n’eragira munne bwebabadde bagugulana mu kkooti Charles Muhangi addemu okuddukanya paaka eno.
Abalamuzi abasatu okuli Remmy Kasule, Faith Mwonda ne Richard Buteera bonna bakkiriziganyizza nga Lubega bw’abadde addukanya paaka eno mu bukyamu nga Muhangi y’alina obwananyini ku ttaka lino.
Munnamateeka wa Muhangi nga ono ye Lawyer Julius Galisonga asanyukidde ekisaliddwawo kkooti era n’ategeeza nga bw’asuubira asuubira omuntu we okutandikirawo okuddamu okuddukanya emirimu mu paaka eno.
Okuviira ddala mu mwaka gwa 2008 Charles Muhangi ne Drake Lubega babadde tebava mu kkooti nga buli omu akaayanira poloti 43-47 okuli paaka ya baasi eno.