Skip to content Skip to footer

Namukadde bamutidde mu ntiisa

Bya Sam Ssebuliba

Police mu district ye Kapchorwa etandise okuyigga abatemu abasse namukadde owemyaka 68 muk iro ekikeesezza olwaleero.

Omygenzi ye Cherengati Joice ngabadde mutuuze mu central zone, mu munisipaali ye Kapchorwa.

Ayogerera police mu kitundu kino Rogers Tayitika agamba nti abaamuse baamukubye ekiti ku mutwe, nayenga tewali kyebabbye ku buntu byomunyumba.

Ono agamba nti omuyiggo gutandise, nga kisubirwa nti abatemu babadde batambulira ku Bodaboda.

Leave a comment

0.0/5