Bya Steven Ariong
Omwana owobuwala nga’naaba engalo oluvanyuma lwo’kuva mu kabuyonjo
Ekizibu kya’batuuze obutaba na kabuyonjo mu district ye Amudat mu bitundu bye Karamoja kigenze kikendeera kati ebibalo biraga nebitundu 25%.
Okusinziira ku mulondoozi we’byobulamu mu disitukiti eno Simon Elimu wabaddewo olutalo olwamanyi okwagazisa abatuuze okusima zzi kabuyonjo.
Agamba nti mu mwaka oguwedde 2016, ku bantu emitwalo 11 nomusobyo abali mu district ye Amudat, ebitundu 88.2% abasinga obungi tebalina zzi kabuyonjo nga beyambira mu nsiko ekyo’bulabe ekivaako endwadde zobuligo.
Yye omumyuka wa ssentebbe wa district ye Amudat, Docas Chelain agamba nti ekizibu kyabatuuze obutaba na kabuyonjo kiva ku ssubi nemiti ebitakyalabika songa byebikozesebwa okuzimba zzi kabuyonjo mu kitundu era abasing kyebekewasa ebya kabuyonjo nebabyenyiwa.
Wabula ono asabye ba ssentebbe be byalo okutekamu amanyi okwagzisa abatuuze okusima zzi kabuyonjo okwewala endwadde.