Skip to content Skip to footer

Omukazi atemyetemye abaanabe 3 nabatta

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi mu disitulikiti y’e Hoima eriko mama gwegalidde mu kaddukulu ku bigambibwa nti yatemyetemye abaanabe 3, ejjambiya okutuusa lweyabase.

Ku bano kubaddeko owemyaka 5, 3 ne 11.

Kigambibwa nti omukyala ono ow’emyaka 33 yabadde yakadda mu maka ga bazaddebe e Kinogonzi mugombolola ye Buhimba e Kikuube okujjanjabibwa obulwadde bw’obwongo.

Fred Enanga omwogezi wa poliisi agamba bweyakunyiziddwa omutemu yawaddeyo emboozi ku ngeri gyeyasseemu abaana be 3. Era kyazuuliddwa nti talina kizibu kubwongo.