
Kkooti etaputa ssemateeka eganye omwenda abavunanibwa okutta abakulembeze b’abayisiramu okweyimirirwa.
Omulamuzi Eldard Mwangushya ategezezza nti nga abo abavunanibwa okutega bbomu mu 2010 abaddukira mu kkoti nga balwanirira eddembe lyabwe naye ate n’abenganda z’abantu abatibwa balina okulowozebwako kubanga nabo baagala bwenkanya.
Omulamuzi era ategezezza nti yadde nga ssabawaabi wa gavumenti aluddewo okuwa abavunaanwa obuliji ku musango guno, tekitegeeza nti temuli nsa kubanga nabo bajja kuweebwa obudde okwewozaako kale bagira baddayo mu kkomera.
Abakwate kuliko seeka Yunus Kamoga, Siraje Kawooya n’abalala nga era bazze basaba okuwoza nga bava bwery.
Abantu b’abakwate bano abazze mu bunji ku kkoti bazzeyo banyogoze olw’essuubi lyebabadde nalyo nti osanga abantu baabwe bayinza okubayimbula.