Skip to content Skip to footer

Abavubuka abatabuse ku mukago

File Photo: Abavubuuka ba Fdc nga bekalakasa
File Photo: Abavubuuka ba Fdc nga bekalakasa

Waliwo ekibinja ky’abavubuka ekitabukidde ab’ebibiina byobwanakyewa  ebiri emabega w’olusirika lw’omukago oguvuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance Summit.

Abavubuka bano nga bakulembeddwamu  Burora Anderson nga era ye ssentebe w’abavubuka ba NRM e Wakiso agamba bano bakoze bubi eggwanga nga basimbawo abantu abalina amabala mu neyisa yaabwe.

 

Abavubuka bano bagamba nti ebibiina byobwanakyewa byebimu ebyali bivumirira abantu bano nti bali ba nguzi naye kati bali mu kyato kyekimu nga kati baagala babanyonyole oba ensimbi ezalibwa bazikomyawo.

 

Bano bateredde Bishop Zac Niringiye Akaka nebamuteeka ku ninga anyonyole oba eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbaabzi gweyali alumiriza okulya enguzi kati ssente y’azizizza.

 

Abavubuka bano bagamba ebibiina by’obwanakyewa tebisaanye kwekubira ludda lwonna wabula birina kuyamba Muntu wawansi nakuwabula gavumenti.

Leave a comment

0.0/5