Olusirika lw’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance luyingidde olunaku olwokubiri nga abana abesimbyewo okugukwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja bongera okusaba obuwagizi.
Olunaku olw’eggulo olusirika lwatandise ku Royal Suites e Bugolobi, nga basoose Kuteesa ku ngeri gyebagenda okulondamu anabakwatira bendera.
Buli yesimbyewo aweereddwa eddakiika 20 okuperereza abalonzi okumuwagira.

Mungeri yeemu akakiiko akasunsula abesimbyewo kalemedde ku ky’obutakkiriza kisinde kya loodi meeya Erias Lukwago ekya Truth and Justice okwegatta ku kisinde kino.
Abatuula ku kakiiko kano bagamba Lukwago basobola okumukkiriza okubegattako nga omu ku bakulu abatuula ku mukago guno naye nga ssi kisinde kye.
Omukago guno gusubirwa okuvaayo n’anagukwatira bendera ku bwapulezidenti mu kulonda kw’omwaka ogujja olunaku olwaleero nga okulangirira kwalunaku lwankya.
Abasimbyewo kuliko ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao, eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya, eyali ssenkaggale wa FDC Dr. Kiiza Besigye n’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi.