
Abekibiina kya NRM e Mukono balonze omusawo wekinnansi okukulembera ekibiina mu munisipaali ye Mukono.
Kabona Jjumba Aligaweesa eyakazibwako erya Jajja Jjumba alondeddwa ku Lukiiko olufuzi ngomumyuka.
Ono agambye newankubadde musamize ye ne banne basobola okubaako enkyukakyuka zebaleeta mu kibiina nemubyobufuzi bye ggwanga.
Agambye bingi ebibadde bitatambula bulungi ebiyinza okusuula ekibiina ekiviriddeko nabamu obutaganyulwa.