Pulezidenti Museveni agamba nti tewali ayinza kutataaganya ddembe lituukiddwaako Uganda mu myaka 30 egiyise
Bino abyogeredde ku mikolo gy’okukuza nga bwegiweze emyaka 30 bukyanga NRA kati NRM etuuka mu ntebe.
Pulezidenti Museveni era agambye nti abantu basaanye okukulembera kawefube w’okunyikiza obulimu okulaba nti bafunamu akawera.
Asuubizza okukwasizaako abalimi okuva mu mwaka gw’ebyensimbi okulaba nti ebyobulimi okutwaliza awamu byongera okututumuka.
Abantu 700 beebaweereddwa emidaali okubasiima olw’ebyo byebakoledde eggwanga nga mu bano kwekuli Andrew Sorowen, Grace Turyagumanawe, Edward Ochom n’abalala.