Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM asabye abawagizi be Bukomansimbi obutalonda besimbyewo nga abatalina kibiina mu kulonda okubindabinda.
Justine Kasule Lumumba eyakiikiriddwa minisita wa ICT Peter Nyombi Tembo okusaba kuno akukoze atongoza ebibiina by’abavubuka ba NRM e Bukomansimbi.
Lumumba okuvaayo bwati kiddiride munna NRM eyesimbyewo okukiikirira abakyala be Bukonsimbi mu palamenti Janat Nakawungu okutegeeza nga bebawangula mu kamyufu bwebabalimirira empindi ku mugongo.
Kati Nyombi Tembo asabye abesimbyewo ku bwanamunigina okukomya okulwana abakwatidde ekibiina kya NRM bendera kubanga bagenda mu kamyufu nti wabeerawo omuwanguzi n’awangulwa.