Skip to content Skip to footer

Omuyizi yetuze

man hangs self

Omuyizi mu ssomero lya Trinity College Nabbingo yetuze

Mwana ono ategerekese nga Mariam Kamwaka nga yetugidde mu kisulo ky’abayizi.

Bakwano be bagamba nti yali yasigala mu siniya y’okusatu kyokka n’alemerako ng’ayagala ku siniya ya kuna era okuwandiika abanaakola ebigezo bwekwatuuse, omwana ono nebamugaana okwewandiisa

Wano weyavudde n’agenda mu kisulo era neyeyimbamu omuguwa neyetuga

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi agambye nti omulambo gw’omuyizi ono bagusazeeyo nebagutwaala mu ddwaliro okwekebejjebwa.

Leave a comment

0.0/5