Skip to content Skip to footer

Ogwa Lukwago gwa mwezi guno

Lord mayor

Kooti enkulu mu ggwanga etaddewo olwa nga 20 March okuwulirako omusango ogwawaabwa loodimeeya Erias Lukwago ku by’okumugoba mu ofiisi.

Lukwago ayagala alipoota eyakolebwa akakiiko eyamulumiriza obutakola mirimu esazibweemu  kubanga yalimu kyekuubira

Lukwago era agamba nti ekya minista Frank Tumwebaze okwongezaayo obudde bw’akakiiko kano nakyo kyaali kikyaamu era ng’atankana ebyaliwo okuva olwo.

Ayagala er asasulwe olw’okutulugunyizibwa kw’ayiseemu ebbanga lino lyonna ng’alwanira ofiisi ye

Omusango guno guwereddwa omulamuzi Yasin Nyanzi

Leave a comment

0.0/5