Gavumenti ya Brazil etegeezezza nga bw’erik abajaasi emitwalo 20 b’etaddewo okulwanyisa ensiri ezireeta ekirwadde ekimanyiddwa nga Zika.
Abajaasi bano bakuva nju ku nju nga basomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu ekirwadde kino ekikwata abaana nebazaalibwa nga tebatonze bwongo.
Kiddiridde gavumenti ezitali zimu okusoberwa ku kirwadde kino ekyalumbye amawanga agawera mu bulaaya
Ekirwadde kino tekirina ddagala era nga tebakigema