Skip to content Skip to footer

Omulambo gwa Gen Aronda guli ku palamenti

File Photo: Omulambo gwa Gen Aronda guuli mu palamenti
File Photo: Omulambo gwa Gen Aronda guuli mu palamenti

Ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze engambo ezibungesebwa ku kufa kwa Gen Aronda Nyakayirima.

Nga ayogerako nebannamawulire Gen Katumba ategezezza nti ebiyitingana pokopoko agendereddwamu okuwabya abantu.

Gen asabye bannayuganda balinde ekinayogerwa gavumenti ku nfa ya Gen Aronda bave mu kutebereza.

 

Era Gen Katumba ategezezza nga omugenzi bw’agenda okuweebwa ebitiibwa bye byenyini nga era wakukubibwa emizinga 17 egikubibwa ng aba General bafudde nga era teri mujaasi atali ku ddaala lya General kukwata ku ssanduuko y’omugenzi.

 

Olutuula lwa palamenti olw’enjawulo okujjukira ebilungi by’omugenzi lwakutandika ku ssaawa 8 ez’emisana.

Yye Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM ajukidde omugenzi Gen Aronda Nyakairima nga omuntu abadde omukozi enyo.

Mukyala Kasule Lumumba mu kukungubagira omugenzi ku palamenti ategezezza nga Aronda bw’abadde omuwereza ow’egonjebwa nga era alese omukululo.

Wano w’asabidde bannabyabufuzi abalala okulabira ku mugenzi nabo basimibwe .

 

Gyebuvuddeko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Kiwanuka Sekandi , sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, ssabaminsita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda n’abakungu ba gavumenti abalala nabo bayogedde ku mugenzi Nyakayirima.

Gen Aronda y’afa ku lwomukaaga oluwedde nga era  wakuzikibwa ku ssande e Rukungiri

Omulambo gwa Gen Aronda Nyakairima gwatuuse mu ggwanga olunaku lw’eggulo nga gugyibwa mu kibuga Dubai gyeyafiira bweyali ava mu ggwanga lya South Korea.

Bendera z’eggwanga n’okutuusa kati  zewuubira wakati ku miti okulaga embeera y’okukungubagira eyali aduumira amaggye g’eggwanga ng’era y’abadde minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga.

Leave a comment

0.0/5