Skip to content Skip to footer

Laddu esse abaana 5

Ekikangabwa kibuutikidde abayizi n’abasomesa saako nabazadde ku somero lya Kabyuuma pulayimale school laddu bw’ekubye abaana 5 nebafirawo.

Abalala 20 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende nga bali mu mbeerambi ddala.

Okusinzira ku mukulu we somero lino John Basaaliza, laddu eno ejidde mu nkuba ebadde etonya ku ssaawa mwenda ekiddiridde kwekubwatuka

Abaana abafudde babadde ba kibiina kya p.3 ne p.4 nga bano babadde basomera mu kibiina ekyazimbibwa ne miti kyokka nga tekiriko bisenge kumabbali kyokka kiserekeddwako amabaati gokka ekintu abazadde saako n’abasomesa kyebavumiride.

Leave a comment

0.0/5