Skip to content Skip to footer

Museveni akubirizza abantu okukola duyiro

 

M7 at kololo

Pulezidenti Museveni asabye abantu bulijjo okukola dduyiro okwekuuma nga balamu bulungi

Bw’abadde ayogerako eri abakungubagizi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Gen Aronda Nyakairima, pulezidenti agambye nti abantu bangi naddala abali mu bukulembeze tebafa ku bulamu bwaabwe ate nga tebawummula kimala.

Ono agambye nti kyannaku nti Gen Aronda yafudde mu ngeri esobola okwewalika kyokka era n’asaba n’abantu okukoma okussa abakulembeze ku muliro.

 

Yye Namwandu wa Gen Aronda agambye nti emyaka 19 gy’amaze ne bba tamukabirirangako bulwadde bwonna era nga kyamukubye wala nga bamugambye nti afudde

Linda Aronda agambye nti bba akoleredde nnyo eggwanga lino era ng’abadde ayagala ky’akola n’okusinga obulamu bwe.

Kyokka ono agambye nti wakati mu mirimu emingi, bba abadde abadde abafisizzaawo obudde era akoze ky’amaanyi mu kusomesa abaana be empisa.

Okusaba kuno okubadde ku kisaawe e Kololo kwetabiddwaako abakulu mu gavumenti, mu maggye, ab’emikwano n’enganda gy’omugenzi kko nebannaddiini.

Mu kusaba kuno ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali ajjukizza abantu okwetegekera okufa nga era tebalina ku kitwala nga kibonerezo.

Ye ssabadumizi w’eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala asomozezza bannamaggye abalala okulabira ku mugenzi baleke emikululo okusobola okujjukirwa.

Ye omusawo wa gavumenti Moses Byaruhanga azzeemu okusomera abakungubazi alipoota y’okufa kw’omugenzi eyalaze nga omugenzi bweyafudde oluvanyuma lw’omutima okwesiba.

Oluvanyuma akwasizza pulezidenti Museveni alipoota eno.

Aronda yafiira mu kibuga Dubai bweyali ava mu ggwanga lya South Korea ku lw’omukaaga oluwedde

Leave a comment

0.0/5