Bya samuel Sebuliba.
Banyini masomero ag’obwananyini balaze obw’enyamivu olwa government okwefunyirira ku ky’okuggala amasomero geegamba nti tegaweza bisaanyizo.
Kinajukirwa nti ministry eno ekedde kutegeeza nga bwegenda okugala amasomero agawerako nga egalanga kulemwa kutuukiriza bisanyizo.
Kati bano nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Federation of Non-State Education Institutions bategeezeza nga bino bwebivudde ku bunafu bwa government okulambula amasomero gano okukakana nga agamu gawabye.
Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekibiina kino Patrick Kaboyo n’agamba nti sibasanyufu n’enkola ya government , kubanga yandibadewo kulungamya, sosi kuggala nga bwekola