Bya Ivan Ssenabulya
Ssenkaggale wekibiina kya Democratic Party Nobert Mao alaze obwetaavu nobukulu bwebibiina, mu Uganda okwegatta, kulwobulungi bwa Uganda nebiseera ebyomumaaso ebirungi.
Mao akakwungeezi kayise abadde ayogerera ku mukolo, ekibiina kya JEEMA kwekikomezeddwawo mu mukago gwebibiiba ogwa Inter Party Organization for Dialogue bwebawangula ekifo kyomubaka wa munisipali ye Bugiri.
Alaze okutya nti emyaka gigenda kuwera 10, nga IPOD weeri naye abakulembeze bebibiina tebatulangako wamu, nasaba obukulembeze bwomukago guno okulwana okulaba nga kino kibaawo.
IPOD gwemukago ogutaba ebibiina byonna ebikirirwa mu palamenti.
James Tweheyo abadde akiridde ekibuiina kya NRM agambye nti, ekibiina kye kyewaddeyo okuteesa era nokutuula nebibiina ebiralala.
Bino webijidde ngaba interreligious Council of Uganda, Elders Forum nabalala abakwatibwako, bategeka okuteesa kwe gwanga okwalangirirwa okutandika mu mwezi ogujja.