Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we’ggwanga Yoweri Kagutta Museveni yesitudde nagenda ku kyalo Kirangira, mu gombolola ye Nama mu district ye Mukono, okulaba abatuuze abamenyebwa amayumba gaabwe enegari gyebalimu.
Omwaka guno ku ntamdikwa, omugagga Diika Banoba
agambibwa aokuba nnanyini ttaka eriweza yiika, 600 nomusobyo yagoba abatuuze kyalo kiramba namayumba gaabwe negamenyebwa.
Kati abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe wa Mukono District Bibanja Holders Association Hosea Sonko bamulopedde omubaka we’kitundu kino era minister wamazzi Ronald Kibuule, nti tabayambye.
Wabula omukulembeze we’ggwanga Yoweri Kagutta
Museveni agumizza abatuuze nti wakubayamba.