Bya Malikh Fahad
Eyali yeyita omusumba wabalokole William Paul Muwanguzi, eyamanyika ennyo nga Kiwedde ayimbuddwa, kati alya butaala oluvanyuma lwokumalako ekibonerzo kye mu kkomera.
Kiwedde yakwatibwa mu 2013 okuva mu district ye Rakai, gyeyali ate yefudde omufaaza okuva mu gwanga lya Kenya ngaja ssente ku bantu, nokubasubiza ebyamagero okuli okuwonya endwadde nebirala.
Oluvanyuma lwokusibibwa mu kkomera e Mutukula mu mwaka gwa 2014, Muwanguzi yatoloka nayolekera egwanga lya Zimbabwe gyebamukwatira nebamuzza kuno.
Ono bamusiba emyaka 4 olwokwefuula kyatali wabula ate bamwongerako emyaka emiralala 2 olwokumenya ekkomera nokusangibwa ne passporta enjigirire mu mannya ga David Mubiru.
Omwogezi wekitongole kyamakomera Frank Baine, akaksizza nga Kiwedde mwebamuyimbudde.