Skip to content Skip to footer

Ensonga ezigobye bannayuganda mu banka

Bya samuel Ssebuliba.

Okunonyereza okuzze kukolebwa aba Sauti za Wananchi, wano mu Africa kulaga nga abantu abakozesa banka bwebakyali abatono, newankubadde abasinga babade badukidde ku mobile money.

Bano bagamba nti bannayuganda abasinga enaku zino ensimbi baziteeka mu busuwa n’abalala okuziteeka mu bikondoolo oba wansi wemifaliso.

Abantu betwogedeko nabo bagamba nti batya okugenda okuggulawo Account naddala abataasoma, abalala bagamba nti ensimbi zaabwe bayinza okuzikwatirayo, abamu batya nti ziyinza okusalawako, kale kyebava basalawo okuziteeka wansi wemifaliso.

Leave a comment

0.0/5