Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa ku kirungo ekipya ekikozesebwa mu kutabula emmere y’enkoko wamu n’eyebyenyanja.
Ekirungo kino ekimanyiddwa nga INSFEED kikolebwa okuva mu biwuka nga ensenene n’ebirala .
Amyuka akulira ekitongole kino Patricia Ejalu agamba oluvanyuma lwokakasibwa, kati ekirungo kino kyakutandika okukozesebwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Eyakulembeddemu okunonyereza kuno okuva ku yunivasite ye Makerere Professor, Dorothy Nakimbugwe agamba ebiwuka bivaamu emmere y’enkoko ey’ebbeeyi entono bw’ogerageranya n’ebirungo ebikozesebwa ensangi zino.