Bya Anthony Wesaka
Essiga eddamuzi lyeyongeddemu ebizibu oluvanyuma lw’abalamuzi ba kkooti ento okutiisatiisa okwediima nga ne bannamateeka ba gavumenti kyebajje balaalike ku nsonga yeemu.
Mu kiwandiiko kyebaawerezza gavumenti, abalamuzi bano bagamba nti gavumenti baagitegezezza dda ku kigendererwa kyabwe okugyako nga embeera gyebakoleramu erongoseddwamu.
Nga 30 June abalamuzi bano wansi w’ekibiina ekibataba baasisinkanamu ssabalamuzi w’eggwanga mu ofiisi ye wano mu Kampala nebamukwasa ekiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe.