Bya Ivan Ssenabulya
Ba ssentebe b'amagombolola e 15 agakola district ye Mukono bagumbye ku kitebbe kya district ye Mukono, okuva akawungeezi akayise okubanja ensimbi eziddukanya amagombolola zebagamba nti tezinabweebwa songa omwaka gwebyensimbi gugenda kuggwako.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe ggombolola ye Kasawo, Badru Kafumbe bategezezza nti bamanyiiko nti ensimbi zino eziva waggulu mu gavumenti zajja dda naye zikyalemedde…
Bya Ali Mivule
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ababundabunda, abaana abasoba mu kakadde akalamba bebaakadduka mu ggwanga lya South Sudan bukyanga kulwanagana kubalukawo mu December 2013.
Akulira ekitongole ky’abaana eky’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNICEF mu buvanjuba n’obugwanjuba bwa Africa Leila Pakkala agamba abaana banji bakyeyiwa mu Uganda n’amawanga agaliranyewo wabula nga bakabakyaza nabo bakalubiriddwa.
Pakkala…
Bya Ruth Andera
Munnabyanjigiriza Dr Stella Nyanzi asambira mabega nga Jjanzi oluvanyuma lwa kkooti okugoba okusaba kwabamuvuaana okusazaamu okweyimirirwakwe.
Omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya y’abadde ayagala Nyanzi addizibwe mu kkomera kubanga yanyoomola akamu ku kaakwakulizo k’okweyimirirwa ku musango gw’okuyita omukulembeze w’eggwanga obutuuliro bweyayita abamuvunaana abantu abambala amakooti g’aba china agatabatuuka Muwaganya ky’agamba nti kubavvoola kwenyini.
Wabula omulamuzi wa…
Bya Damali Mukhaye
Olukiiko lwa kanso ya KCCA luyiise oluvanyuma lw’abamu ku ba kansala b’amagombolola okutabuka nebanaabwe aba LC 5,
Embeera okuva mu nteeko kiddiridde minisita omubeezi owa Kampala Benny Namugwanya okusomera kanso alipoota ya minisitule ye ku tteeka lya kampala erisala ku buyinza bwa loodi meeya n’okulaba nga talondebwa bannakampala wabula bakansala okerondamu omuntu n’afuuka loodi…
Omusuubuzi Sulaiman Kabangala amanyiddwa nga SK Mbuga akyali ku kitanda mu ddwaliro lye Nakasero oluvanyuma lw’apikipiki okumukuba katono emutte.
Mbuga nga y’omu ku bali mu kibinga ky’abamansa ssente ekya Rich Gang crew y’abadde adda ewuwe e Buziga Pikipiki n'emuwa.
Abamu babadde batandise okuyisa pokopoko nti Mbuga afudde wabula omu ku bamulambuddeko mu ddwaliro Frank Gashumba ku Facebook…
Bya Ruth Andera
Kkooti ye Makindye eyongeddeyo ku alimanda Joseph Mukasa Kato nga ono avunaanibwa kulebula musumba wa kanisa ya Gospel Healing Centre Lweza paasita Bishop Patrick Makumbi nti mufere awedde emirimu era ebyamagero apangabipangirire.
Omulamuzi Allan Gakyaalo ataddewo olwal nga 6 July 2017 okuddamu okuwulira omusago guno era n’alagira Makumbi aggye n’abajulizi be.
Nga 5th June 2017,…
Bya Abubaker Kirunda
Omu ku baakwatibwa ku musango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi awolerezza abapoliisi ye Nalufenya nti teri kutulugunya.
Asuman Mudenya nga mutuuze ku kyalo Mwezi yakwatibwa nga Kaweesi kyajje atibwe.
Oluvanyuma lw’okuyimbulwa, Mudenya agamba bweyali ku poliisi eno okumala emyezi 2 mpaawo yamutulugunya nga era atwala poliisi eno Tyson Lutambika buli wiiki…
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi erabudde abamu ku benganda z’omugenzi Andrew Felix kaweesi nga ono yeyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga okukomya okweyingiza mu kunonyeereza kwa poliisi ku kutibwa kw’omuntu waabwe.
Okusinziira ku poliisi abenganda mu kujjukira omugenzi baakunganye nga 17 Omwezi guno nebatandika okusonga ennwe mu bakulu ba poliisi abamu nti bebaali amabega w’okutta Kaweesi.
Nga ayogerako nebannamawulire…
Bya Ali Mivule
Aba Olila High School bebanantameggwa b’ekikopo kya Uganda Cup ekyabakyala.
Olila yakubye Gafford Ladies 3-1 ku penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1 mu ddakiika 90.
Olila yavudde maliri okuwangula omupiira guno mu muzanyo ogwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Madibira Primary school playground in Busia district last evening.
Evelyn Kakayi yeyasoose okuteebera Gafford Ladies wabula Cissy Nnatongo n’akuba…
Bya Ali Mivule
Akakaiiko ka FUFA akakola ku by’okulonda kakutuula olunaku lwaleero okusalawo ku nsonga z’ayagala okwesimbawo ku kifo ky’akulira FUFA Mujib Kasule ataasunsulibwa ku lwokutaano oluwedde.
Ssentebe w’akakiiko kano Samuel Bakiika agamba Mujiba alina ebibulako bingi nga emikono gy’abaamusemba, obufaananyi n’ebirala ebibulamu.
Ye Mujiba agamba ebyakyusibwa byali bingi ate obudde nebamuwa butono okuleeta buli kyetagisa .
Wabula ategezezza…