Bya Ali Mivule
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ababundabunda, abaana abasoba mu kakadde akalamba bebaakadduka mu ggwanga lya South Sudan bukyanga kulwanagana kubalukawo mu December 2013.
Akulira ekitongole ky’abaana eky’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNICEF mu buvanjuba n’obugwanjuba bwa Africa Leila Pakkala agamba abaana banji bakyeyiwa mu Uganda n’amawanga agaliranyewo wabula nga bakabakyaza nabo bakalubiriddwa.
Pakkala agamba kati Uganda y’esingamu ababundabunda mu Africa nga mu nsi yonna ekwata kyakusatu oluvanyuma lwa Turkey ne Pakistan
Pakkala agamba yadde nga abaana ababundabunda bakozesa amalwaliro, amassomero n’ebirala ebyabanansi, ebyokukolebwako bikyali bingi okulaba ngatebasosolebwa n’okufuba okulaba nga abaana bali wamu n’abomumaka gaabwe abalala.
Bino webijidde nga Uganda yetegeka okutegekla olusirika lw’ababundabunda olw’ensi yonna olwa International Solidarity Summit on Refugees okuva nga June 22nd okutuusa nga 23rd