Bya Ruth Andera
Munnabyanjigiriza Dr Stella Nyanzi asambira mabega nga Jjanzi oluvanyuma lwa kkooti okugoba okusaba kwabamuvuaana okusazaamu okweyimirirwakwe.
Omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya y’abadde ayagala Nyanzi addizibwe mu kkomera kubanga yanyoomola akamu ku kaakwakulizo k’okweyimirirwa ku musango gw’okuyita omukulembeze w’eggwanga obutuuliro bweyayita abamuvunaana abantu abambala amakooti g’aba china agatabatuuka Muwaganya ky’agamba nti kubavvoola kwenyini.
Wabula omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road James Ereemye Mawanga ategezezza nti Nyanzi y’ali yemulugunya ku kukandalirira kw’omusango gwe olw’okujjanga mu kkooti nga bannamateeka bamutegeeza nga bwebatali beetegefu naye ekyamwenyamiza.
Omulamuzi era alagidde abavunaana Dr Stella Nyanzi obutageza kugenda mu maaso na nteekateeka zaabwe ezokumukebera omutwe kubaga yekubira dda enduulu mu kkooti etaputa ssemateeka.
Kati omulamuzi alagidde Dr. Nyanzi okudda mu kkooti nga 21 July 2017 okuwulira omusango ogumuvunaanibwa ogw’okukozesa obubi obukutu gwamuyunga bantu ogwa Facebook n’ayita omukulembeze w’eggwanga obutuliro.