Poliisi mu disitulikiti ye Mbarara ekyanonyereza ku mwana ow’emyezi 4 eyatiddwa mungeri etanategerekeka.
Taata w’omwana ono ye Keneth Muhumuza ne Sarah Turyamwijuka nga bonna batuuze ku kyalo Kibaba cell mu gombolola ye Nyakayojo .
Turyamwijuka agamba omwana baamulese mu ddiiro nebagenda mu lusuku baagenze okudda nga omwana taliiwo.
Bwebaanonyezza okumala akabanga baagudde ku mulambo nga guli mu baketi…
Ab’ebyamasanyalaze kuno balina enteekateeka y’okukomya okugula amasalaze okuva mu ggwanga lya Rwanda agakozesebwa mu tawuni ye Kisoro kubanga gavaavaako.
Yinginiya wa UMEME owa disitulikiti ye Kisoro Naboth Aine ategezezza olukiiko lwa disitulikiti nti amasanyalaze okuvaavaako kisanyalazza nyo emirimu naddala mu malwaliro n’aba bizinesi.
Rwanda y’ebadde eyasa Kisoro okumala ebbanga eriwerako wabula Aine agamba nti amasanyalaze gano okuvaavaako…
Bya Ritah Kemigisa
Nga okulonda kw’anajuza ekifo ky’omubaka wa Kyadondo East kusembera nga 26 June 2017, ab’ekibiina kya DP olwokaano baluvuddemu nebagyayo omuntu waabwe Lillian Babirye Kamoome.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao agamba baagala kulaba ga emikisa gy’abavuganya okuwangula ekifo kino gyeyongera kubanga aba NRM babadde bakozesa akakisa k’aboludda oluvuganya okwetematemamu…
Ekibiina ekigatta bannamagoye mu ggwanga kyagala gavumenti ereme kubaleka mabega mu nteekateeka z’okuyamba abantu abenjawulo bwekituuka ku by’obulamu n’ebyenjigiriza.
Akulira ekibiina kino Jude Ssebyanzi agamba nti nga Uganda ekuza olunaku lwabannamagoye olwalero, bangi ku bannamagoye balekeddwa ttayo mu nteekateeka za gavumenti.
Agamba balina enteekateeka y’okuteekawo ekifo awakunganira bannamagoye okufuna eddoboozi eryawamu.
Ssebyazi agamba basosolebwa nga bangi ku baana…
Bya Moses Ndhaye
Gavumenti eriko etteeka lyeleeta okukangavvula omuntu yenna anaakwatibwa nga awa abaana bokunguudo ssente.
Kamissiona avunanyizibwa ku by’okwewala obubenje wamu n’ebyobulamu mu minisitule y’ekikula ky’abantu David Mugisa agamba baagala kulaba nga batiisa abaana okweyiwa ku nguudo.
Agamba baagala kulaba nga babonereza n’abantu abasindika abaana bokunguudo okusabiriza oluvanyuma nebabagyamu ensimbi.
kino kiddiridde abaana okwongera okweyiwa ku nguudo nga…
Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga the cranes bakomyewo okuva mu ggwanga lya Cape verde.
Ttiimu etonye ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe amakya galeero ku ssaawa 9 ez’ekiro.
Nga baakatuuka boogeddeko eri bannamawulire nebabategeeza byebayiseemu mu Cape verde n’egeri gyebasobodde okukubamu banyinimu 1-0.
Omutendesi wa ttiimu Micho Sredejovuc y’asiimye obumu obwayoleseddwa abazanyi be.
Ye kapiteeni wa ttiimu era omukwasi wa ggoolo Dennis…
Bya Ali Mivule
Yadde nga Uganda cranes yawangudde omupiira gwayo ogw’ekibinja ogusooka mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2017 ezinayindira mu Cameroon , omutendesi wa ttiimu Micho Sredejovic alabudde abazanyibe obuteyibaala nti baayiasemu dda.
Micho okwogera bwati nga Uganda ky’ejje erumbe Cape Verde omwayo n’egikubirayo goolo 1-0 eyateebeddwa Geofrey Sserukuuma mu ddakiika 83rd .
Micho agamba okuwangula…
Bya Abubaker Kirunda
Mu disitulikiti ye Mayuge omulenzi ow’emyaka 6 amazze ennaku nga abuze omulambo gwe gusangiddwa nga gutemeddwako omutwe nga n’ebitundu by’ekyama tekuli.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi ategezezza nga omulambo gwa Juma Muyita bwebagusanze nga gusuuliddwa mu ssamba y’ebikajjo ku kyalo Musita mu gombolola ye Baitambogwe.
Omugenzi mutabani wa Issa Muyita ne Aisha…
Bya Malik Fahad
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu oluvanyuma lw’omusajja okutuga kitaawe naye oluvanyuma neyetuga.
John Ssempaka myaka 35 nga mutuuze ku kyalo Ssebijja Village y’asse kitaawe Ronald Kalegeya myaka 60 oluvanyuma naye neyejja mu budde.
Ettemu livudde ku Taata kugenda kutaasa mukamwanawe ku Ssempaka abadde amuggunda nga amubuuza gy’abadde eyenjeledde era olw’obusungu n’adda…
Bya Ali Mivule
Nga abayisiraamu bagenda basonjola omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, baweereddwa amagezi okwongera ku mirimu emilungi gyebakola mu nnaku zino ezisembayo.
Olwaleero abayisiraamu basiiba olunaku lwabwe olwe 17.
Kati Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi Ahmed Sulaiman Kyeyune agamba abayisiraamu essira essaawa zino lisanye kubeera ku nnaku 10 ezisembayo omuli n’ekiro kya “Lailatula Khadir” ekyaggwa edda okugera nga muno…