Bya Damali Mukhaye
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ekirwadde kya Sickle cells, Minisitule y’ebyobulamu esabye bannayuganda bonna okwongera okutwala abaana baabwe abali wansi w’emyaka 2 okukeberebwa ekirwadde kino ki kattira.
Okusinziira ku muwandiisi wenkalakalira Diana Atwiine ebibalo biraga nti abaana 25,000 buli mwaka bazaalibwa n’obulwadde buno nga era ku bano 80% bafa tebanaweza myaka…
Bya Fredrick Musisi
Kyaddaaki ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura avuddemu omwasi ku mbeera y’obulamu bwe oluvanyuma lwabannayuganda okutandika okwebuuza nti ssabapoliisi aliwa nga abalala bagamba nti oli mulwadde muyi alinda ssaawa.
kati Kayuhura yayogeddeko n’olupapuoa lwaffe olwa daily Monitor mu kibuga kya Turkey ekikulu ekya Ankara n’ategeeza nti gyali amoga wabula musanyufu nti bannayuganda bamufaako okutuuka okumwebuuza…
Bya Malik Fahad
Ebintu bya bukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusanyawo ebibanda by’embaawo nebu kiosk obwenjawulo mu tawuni ye Lyantonde.
Bino bibadde ku luguudo lwe Lumama nga era ebibanda 20 n’amaduuka gendabirwamu tegalutonze.
Abatuuze bagezezzaako okuzikiza omuliro guno naye nga buteerere negusasanira mu bibanda byonna .
Aduumira poliisi ye Lyantonde Tomas Oyo agamba omuliro guno gwandiba nga gwaavudde ku masanyalaze.
Agamba…
Bya Ali Mivule
Poliisi mu district ye Abim etandise okunonyereza ku batuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo nebakkira omusajja gwebabadde baterereza okubba embuzi nebamuttira ku kanisa.
Wetwogerera poliisi yakakwata abantu 5, okuli sentebe womuluka gwe Aremo John Pius Aupe, ssentebe we ggombolola ye Moruremu, Denis Orebo nga kigambibwa bebakulembeddemu okutwalira amateeka mu ngalo nebatta omuntu, ngabalala bakyaliira ku…
Bya Ali Mivule
Poliisi mu disitulikiti ye Mbale eriko abantu 3 bekutte nekilo z’amasanga g’enjovu 34 agabalirwamu obukadde 13 wamu n’ensimbi z’ebichupuli za 500,000.
Bano baakwatiddwa ab’ekitongole kya poliisi ekya Police flying squad nga bayambibwako ab’ekibiina ekilwanirira ebisolo byomunsiko ekya Natural Resource Conservation Network .
Omu ku bakwate Robert Muwombi agamba amasanga gano yagaguze kuva Kotido ku Lokeris…
Bya Malik Fahad
Poliisi ye Masaka eri ku muyiggo gwa maama kalittima eyagyemu olubuto olw’emyezi 5 omwana n’amusuula ku kasasiro.
Bino bibadde mu katawuni ke Kijjabwemi nga era omu ku batuuze Simon Ndyaguma agamba nabo kibabuuseko okusanga omwana ono kwekukubira poliisi essimu okukima omulambo.
Atwala poliisi ye Kyabakuza Denis Kanakulya ategezezza nti bagezezzaako okukozesa embwa enkonzi z’olusu okuzuula…
Bya Ali Mivule
KCCA FC baawangudde ebikopo 2 mu sizoni emu omulundi gwaabwe ogusookedde ddala.
Oluvanyuma lw’okuwangula liigi y’eggwanga, batabani ba Mike Mutebi baawangudde ne Uganda Cup oluvanyuma lw’okukuba Paidha Black Angels 2-0 mu Arua
Muyizi tasubwa wa Uganda Cranes Geofrey Sserunkuma yeyasoose okuteeba mu ddakiika 10 mu kitundu ekisooka ate Derrick Nsibambi n’afuna eyokubiri.
Mu mupiira gwegumu omuwuubi w’akatambaala…
Bya Nelson Wesonga
Gavumenti etegezezza nga bwewaliwo ebbula lya paasipoota z;abantu babulijjo nga kati basooka kufa ku bagenda kujanjabibwa n’abo abafunye omukisa okugenda okusomera emitala w’amayanja.
Okusinziira ku minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ebbula livudde ku nteekateeka y’okuba nti essaawa yonna bannayuganda baakutandika okukozesa paasipooti ziri ku mutimbagano gwa yintaneti.
Mungeri yeemu minisitule etegezezza nga abantu abasaba paasipoota zino…
Bya Michael Kakumirizi
Waliwo omusajja akyatendereza Katonda n’okutuusa kati oluvanyuma lw’ekimotoka kya Fuso okuyingirira emmotokaye nekigifunyafunya wabula n’avaamu nga mulamu.
Yahaya Ssekaggo abadde avuga Premio namba UAT 145D ki fuso ekibadde kyetisse ekimotoka ekisenda ettaka nekimutomera emmotokaye nekiginyigira ku kiloole ekibadde mu maaso.
Bino byonna bibadde Mengo nga onatera okutuuka ku Clock Tower kumpi ne Total abadde avuga…
Bya Henry Lubuulwa
Ate poliisi mu disitulikiti ye Kalangala ekyanonyereza ku musajja ow’emyaka 33 okutta omuvubi n’amubbako omufaliso gwe.
Bino byabadde ku mwalo gwe Lutoboka nga era okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe bagamba baasanze omulambo gwa Arnold Muyanja mu kitaba ky’omusaayi .
Bwebaagenze okwaza amaka g’omukwate nebasangayo omufaliso gw’omugenzi nebaagala okumumiza omusu poliisi n’emutaasa.
Atwala poliisi ye Kalangala David Tenywa…