Bya Ali Mivule
Poliisi mu disitulikiti ye Mbale eriko abantu 3 bekutte nekilo z’amasanga g’enjovu 34 agabalirwamu obukadde 13 wamu n’ensimbi z’ebichupuli za 500,000.
Bano baakwatiddwa ab’ekitongole kya poliisi ekya Police flying squad nga bayambibwako ab’ekibiina ekilwanirira ebisolo byomunsiko ekya Natural Resource Conservation Network .
Omu ku bakwate Robert Muwombi agamba amasanga gano yagaguze kuva Kotido ku Lokeris Isaac nga ayagala kwefunira ku nsimbi kubanga amasanga gafuna kiralu nga era buli kilo yagiguze 100,000 nga ye abadde agenda kutunda 350,000 .
Okusinziira ku akulira ebyamateeka mu kibiina kya Natural Resource Conservation Network Head of Legal and Prosecution Massa Leonard, abasatu bano baakuvunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’ebika by’ebisolo ebitakkirizibwa kuyigibwa, okwekobaana okuzza omusango wabu n’okusaasanya ssente z’ebichupuli.
