Bya Ali Mivule
Poliisi mu district ye Abim etandise okunonyereza ku batuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo nebakkira omusajja gwebabadde baterereza okubba embuzi nebamuttira ku kanisa.
Wetwogerera poliisi yakakwata abantu 5, okuli sentebe womuluka gwe Aremo John Pius Aupe, ssentebe we ggombolola ye Moruremu, Denis Orebo nga kigambibwa bebakulembeddemu okutwalira amateeka mu ngalo nebatta omuntu, ngabalala bakyaliira ku nsiko.
Omubaka wa gavumenti mu district ye Abim, Samuel Mbimbaza Hashaka omugenzi amumenye nga Samuel Okoro.
Ategezezza nti ogubinja gwabantu gwalumbye kanisa ye Mororemu nebasikayo omugenzi Okoro wakati mu kusaba nebamukuba okutuuka okufa.