Bya Juliet Nalwooga
Omuliro nabbambula gukutte, ku store za Madhvan ku luguudo 5, mu Industrial Area e Bugoloobi, ng’ekikka kirabiddwako mu bwengula wakati mu muliro ogubadde guteta.
Ab’e tterekero lye ddagala aba National Medical Store bebasinze okukosebwa mu muliro guno, wabulanga negyebuli kati tekinakaksibwa guvudde ku ki.
Kiteberezebwa nti omuliro guno guvudde ku masanyalaze.