
Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance bakutuula olwaleero bateese ku nteekateeka egenda okugobererwa mu kalulu ka 2016.
Okusinziira ku nsonda ezesigika olusirika luno lwakwetabwamu ba ssenkaggale b’ebibiina, abakulembeze b’ebisinde ebyenjawulo ssaako n’abakulembeze abalala okwongera okuteesa ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Omukago mu kiseera kino gwetemyemu nga abamu nga bakulembeddwamu agenda okukwatira ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye baagala enongosereza zino zikolebweko nga tebanalonda sso nga abalala baagala okulonda kugende mu maaso yadde enongosereza zino tezinakolebwako.
Mungeri yeemu Besigye asubirwa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa okwesimbawo ku tikiti y’omukago guno kubwapulezidenti mu 2016.