Bya Opio Sam Caleb
Abatwala ebyenjigiriza mu district ye Kamuli bagadde essomero lya Nakakabala P/S oluvanyuma lwemizimu okutemba abayizi 32, nga bonna bawala.
Omulondoozi wamsomero e Kamuli Muzaham Chuka ategezeza nti abayizi baliyinyiddwako ebyokoola, nga balumba abazadde nabasomesa okubakuba amayinja nokwogera mu nnimi, kati okumala ennaku 3.
Ategezeza nti basazeewo okuggala essomero lino okuuka ku Lwokubiri lwa wiiki ejja okwewala ebyandirira kuba, nebibadde byononeddwa biwerako.
Ono alaze okutya nti embeero eno, eyebyokoola okulumbanga amasomero egenda yeyongera, nayenga okusinga ababuirizi benjiri, bebatera okusaba embeera nedda mu nteeko.
Wabula omumyuka wakulira ebyobulamu mu district ye Kamuli Moses Lyagoba, ngagamba nti ekizibu kino kirabika kiva ku bwongo, nebirwadde byomukwano oba hysteria ngategezeza nti bwopkebera abaana bano, oyinza okusanga nga bali mbutto.