Skip to content Skip to footer

Omutuuze we Abaita-Ababiri afudde enjala

Bya Paul Adude

Abatuuze be kawafu ku Abaita Ababiri, mu tawuni kanso ye Katabi mu Wakiso baguddemu entiisa, omusajja owemyaka 41 bweyafudde enjala.

Omugenzi ategerekese nga ye Justus Sempa okusinziira ku ssentebbe w’kyalo kino Daniel Makoba.

Ono abadde nabaana abalenzi babiri nga yabalabirirra kububwe awatali mukazi era abadde mutunzi wangatto.

Okusinziira ku nannyini wabadde apangisa Sam Kavubu, ono gyebuvuddeko era yazirikako olwenjala nga babadde bamala ennaku nga tebalya.

Atwala poliisi ya Abaita Ababiri Gilbert Byesigye agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5