Skip to content Skip to footer

Eyazaalibwa n’amagulu ataano yeetaga obukadde nkaaga

Mulago hospital

Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakyagenda maaso n’okwekebejja omwana eyazalibwa nga alina amagulu ataano.

Omu ku basawo omukugu mu kulongoosa Dokita  John Ssekabira agamba tebanazuula kiki ddala ekyaviirako omwana ono okubeera bwati wabula nga akyali mu mbeera nungi.

Bbo bazadde b’omwana ono basaba buyambi obw’omwana wabwe ono n’abalala 4 bebaleka mu kyalo.

Omwana ono yazalibwa  Awine Margret ne Boniface Okongo abatuuze be  Nayingo mu disitulikiti ye  Bugiri nga okulongosa omwana ono kwakumalawo obukadde 60.

Leave a comment

0.0/5