
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi olwaleero wakugenda mu maaso n’enteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi ng’ayolekedde Kapchorwa
Olunaku olw’eggulo Mbabazi yayuugumizza Mbale era yakubye olukungaana gaggadde ku kisaawe kya Cricket ewabadde namungi w’omuntu.
Omwogezi wa Mbabazi Josephine Nkangi ategeezezza nga mukama we bw’agenda okukuba olukungaana ku kisaawe kye Booma e Kapchorwa.
Nkangi agamba obuwagizi obwalagiddwa Mbabazi e Mbale kiraga nti enkyukakyuka yesungiddwa bangi mu 2016.