
Ba memba b’ekibiina kya NRM ku byalo okuli Nakahuka, Mukitoma, Butanda ne Kanyinya mu disitulikiti ye Kyenjojo batabukidde omuwandiisi we gombolola lwa manya gaabwe kubula ku nkalala n’obutawebwa bululu.
Bano balumiriza omuwandiisi ono okusangula amanya gaabwe mu bugenderevu wabula omuwandiisi Clovis Birungi byonna abyeganye.
Ategezezza nga abatuuze bwebavudde mu mbeera lwakutuuka ewalonderwa ku makya nebabasaba okulindamu okuwebwa obululu kyebatagumikkirizza.
Omuwandiisi wa NRM ku disitulikiti Winnie Ngobi ategezezza nga ekizibu kino bwekitakosezza gombolola ye Butunduzi yokka wabula n’ebitundu bya disitulikiti ebirala n’abasaba okusigala nga bakkakamu.